John Twesigye Ntamuhiira nga yemubaka wa Bunyaruguru County mupalamenti yoomu kubazadde abaleese abaana baabwe okwetaba mukisakaate kya Nabagereka 2018 ekiyindira e Mpigi ku somero lya St Joseph Nazareth.
Ono atubulidde nga abazadde bwebatakoze kimala mukubulira nokugunjula abaana nga kino kyekivuddeko empisa mu baana okusereba ensangi zino.Twesigye era mwenyamivu olwa gavumenti obutavaayo kusomesa bannayuganda ku tteeka erirungamya eddembe lyabaana.Ensonga endala ono gyasonzeeko okubeera ensaale mukwonoona abaana yeyamasimu saako nomutimbagano oba giyite internet.Leero abaana abasoba mu bitaano bebetabye mukisakaate kya Nabagereka 2018 nga basimbudde ku Bulange e Mengo .
Kino kyakuyindira sabbiiti bbiri nga kyesigamye kumulamwa obuntubulamu butandikira kunze.Abazadde nabaana baliko byebogedde ku kisakaate.