Quantcast
Channel: NTV - Turning on Your World
Viewing all articles
Browse latest Browse all 3164

Abatuuze e Kira beekozeemu omulimu okunyweza ebyokwerinda

$
0
0
Ebyalo ebimu e Kira byasazeewo mayumba-kkumi okugyoleesa mu ngeri endala nga bekolamu omulimu okwewa obukuumi mu biseera eby’ekiro.

Emisana, ebitundu nga Kira-Namugongo, Ntinda, Kigoowa n’ebirala birabikira ddala ng’ebifo eby’emirembe kubanga abatuuze batuuze obasanga buli atambula awatali amukuba ku nsolobotto.

 

Naye bw’oba omwekkaanya, waliwo ebintu by’olabako n’ebikubaguliza ku butya ate bw’ebikyuka ng’enjuba eserengese ewa nabikande.

 

Nga 29 October 2017, Atwine Bahigye nga mutuuze ku kyalo Mulawa e Kira yali ne muganda we beppo ne mukyala we nga bakomawo ewaka.

 

Bwe batuuka ku geeti, omukyala n’afuluma okugenda okuggulawo bano tebaamanya nti waliwo bakyala-kimpadde abaali babalindiridde.

 

Ono baliko byebaamulagira okubawa kyokka nga akyagugubye.

 

Okuva awo baalumba muganda we naye eyali mu motoka endala, kyokka ono bweyagezaako okubalwanyisa bamuguba nga abamugunjula.

 

Ku kitundu ky’ekimu eky’e kira, mu kir ekyakeesa nga 21 December, akulira ekibiina ki Uganda Medical Asscociation Dr. Ekwaro Obuku, naye yagwa ku kibambulira, abaseddekezi naye bwe baamuzingirako ku ggeeti ye ne bamuyisa bubi.

 

Ono yamala enzingu eziwerako mu ddwaliiro nga anyiga biwuundu.

 

Lunaku ku lunaku, mwezi ku mwezi, embeera eno efuukidde ddala lutaakome mu bitundu nga bino ewabeera abantu b’ekika omuzungu kyeyandiyise middle class.

 

Newankubadde waliwo enkola ya Mayumba-kkumi poliisi gy’erumiriza nti yanditaasa ku bulumbaganyi nga buno, ebadde terina kinene ky’awo kye yaakozeewo.

 

Ebyalo ebimu e Kira byasazeewo mayumba-kkumi okugyoleesa mu ngeri endala nga bekolamu omulimu okwewa obukuumi mu biseera eby’ekiro.

Bano nga bayita mu bukiiko bwabwe obw’ebyalo, baafunayo abavubuka abalawuna ebitundu okuziyiiza obumenyi bw’amateeka.

 

Twagadde okulaba engeri kino gyekikolamu era naffe netuzambalira ku mugongo nga nswa yogayooga ku kyalo Nsasa e Kira enkola eno gy’eringa etandiise okufuna ebibala.

 

Twegasse ku bavubuka bano tulabe ekyalo bwekibeera mu mattuumbi.

 

Ekitundu kyebakuuma kyayawulwamu zone 4 era nga bull emu erawunwa abavubuka basatu.

Akageri okwerinda gyebutali buti, bano balina ebikozesebwa ebitono mu kwerwanaako beppo ne ffirimbi simba embeera ebayitirirako olwo nebakowoola bannaabwe okubayambako.

 

Julius Isabirye nga y’akamala emyezi musanvu ku mulimu atubuliidde engeri gyebakolamu na ddala mu kutaasa abantu ababa baalumbiddwa ku bikomera byabwe.

 

Isabirye atubuliidde abantu bebatebeereza okukijjanya abatuuze kuno.

 

Agamba nti ebiseera bingi basomoozebwa bwe bakwata abantu ate abatuuze bennyini nebabawolereza.

 

Nga tutambuula, waliwo amaka gebatuukiddeko okukebera oba abaayo bali bulungi kyokka omuvubuka ono n’abeekengera.

 

Wabula oluvannyuma lw’okumunnyonnyola ebigendererwa byabwe, kyamuzizzako akamwenyu.

 

Bano balina enkolagana ne poliisi singa babaako gwebakutte.

 

Kyebagala kwekwongerwa ku bukodyo obwanganga omulabe.

 

Mbabuziizza ku musaala gwebasasulwa kyokka nebategeeza nti byoya bya nswa bw’ogerageeranya ku buwereeza bwabwe.

 

Abatuuze okwetoloola Kira balina endowooza za njawulo ku nkola z’obukuumi ng’eno.

 

Isabirye ne banna batera kunnyuma ku ssaawa kumineemu nga abantu batandiise okufuluma okugenda okukola.

 

Liveblog: 

Viewing all articles
Browse latest Browse all 3164

Trending Articles